Job 29

1 aYobu n’ayongera okwogera nti,

2 b“Nga nneegomba emyezi egyayita,
ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
3 cettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
4 dMu biro we nabeerera ow’amaanyi,
omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
5Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
6 en’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

7 f“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
8abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
abakadde ne basituka ne bayimirira;
9 gabakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
ne bakwata ne ku mimwa;
10 hab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,
era n’abo abandabanga nga basiima
12 ikubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 jOmusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 kNe nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 lNnali maaso g’abamuzibe
era ebigere by’abalema.
16 mNnali kitaawe w’abanaku,
ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 nNamenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

18 o“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange
nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 pOmulandira gwange gulituuka mu mazzi,
era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 qEkitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,
n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ 

21“Abantu beesunganga okumpuliriza,
nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 rBwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,
ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23Bannindiriranga ng’enkuba
ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 sNabasalirangawo eky’okukola,
ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;
nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”
Copyright information for LugEEEE